क़ुरआन के अर्थों का अनुवाद - लुगांडा अनुवाद - अफ्रीकी विकास फाउंडेशन

पृष्ठ संख्या:close

external-link copy
85 : 28

إِنَّ ٱلَّذِي فَرَضَ عَلَيۡكَ ٱلۡقُرۡءَانَ لَرَآدُّكَ إِلَىٰ مَعَادٖۚ قُل رَّبِّيٓ أَعۡلَمُ مَن جَآءَ بِٱلۡهُدَىٰ وَمَنۡ هُوَ فِي ضَلَٰلٖ مُّبِينٖ

85 . Mazima oyo eyakukasaako Kur’ani agenda kukuddiza ddala eri obuddo obulagaanye, gamba nti Mukama omulabirizi wange y'asinga okumanya oyo aleese obulungamu, era n'oyo ali mu bubuze obw'olwatu. info
التفاسير:

external-link copy
86 : 28

وَمَا كُنتَ تَرۡجُوٓاْ أَن يُلۡقَىٰٓ إِلَيۡكَ ٱلۡكِتَٰبُ إِلَّا رَحۡمَةٗ مِّن رَّبِّكَۖ فَلَا تَكُونَنَّ ظَهِيرٗا لِّلۡكَٰفِرِينَ

86 . Era wali tosuubira ekitabo okuba nga kikuweebwa, (ekyo tekyali) okugyako okusaasira okuva ewa Mukama omulabiriziwo n'olwekyo tobeeranga omuyambi wa bakaafiiri. info
التفاسير:

external-link copy
87 : 28

وَلَا يَصُدُّنَّكَ عَنۡ ءَايَٰتِ ٱللَّهِ بَعۡدَ إِذۡ أُنزِلَتۡ إِلَيۡكَۖ وَٱدۡعُ إِلَىٰ رَبِّكَۖ وَلَا تَكُونَنَّ مِنَ ٱلۡمُشۡرِكِينَ

87 . Era tewabangawo akuggya ku bigambo bya Katonda oluvanyuma lw'okuba nti byassibwa gyoli, era koowoola (abantu) okujja ewa Mukama omulabiriziwo era tobeeranga mu bagatta ebintu ebirala ku Katonda. info
التفاسير:

external-link copy
88 : 28

وَلَا تَدۡعُ مَعَ ٱللَّهِ إِلَٰهًا ءَاخَرَۘ لَآ إِلَٰهَ إِلَّا هُوَۚ كُلُّ شَيۡءٍ هَالِكٌ إِلَّا وَجۡهَهُۥۚ لَهُ ٱلۡحُكۡمُ وَإِلَيۡهِ تُرۡجَعُونَ

88 . Era tosabanga awamu ne Katonda ekisinzibwa ekirala kyonna, tewali kisinzibwa mu butuufu okugyako yye, buli kintu kyakuggwawo okugyako yye, okusalawo kwonna kukwe era gyali gye mulizzibwa. info
التفاسير: