કુરઆન મજીદના શબ્દોનું ભાષાંતર - લુગાન્ડા ભાષામાં અનુવાદ - આફ્રિકન ડેવલપમેન્ટ ફાઉન્ડેશન

Al-Mutwaffifiin

external-link copy
1 : 83

وَيۡلٞ لِّلۡمُطَفِّفِينَ

1. Okuzikirira kuli ku abo abakendeeza ebipimo. info
التفاسير:

external-link copy
2 : 83

ٱلَّذِينَ إِذَا ٱكۡتَالُواْ عَلَى ٱلنَّاسِ يَسۡتَوۡفُونَ

2. Abo bwe baba nga beebapimirwa, basaba ebipimo byabwe bijjuzibwe. info
التفاسير:

external-link copy
3 : 83

وَإِذَا كَالُوهُمۡ أَو وَّزَنُوهُمۡ يُخۡسِرُونَ

3. So nga bwe baba nga be balengera abalala, oba be bapima, bakendeeza (ebipimo). info
التفاسير:

external-link copy
4 : 83

أَلَا يَظُنُّ أُوْلَٰٓئِكَ أَنَّهُم مَّبۡعُوثُونَ

4. Abaffe tebakakasa nti mazima ddala baakuzuukizibwa. info
التفاسير:

external-link copy
5 : 83

لِيَوۡمٍ عَظِيمٖ

5. Ku lunaku oluzito (olw'enkomerero). info
التفاسير:

external-link copy
6 : 83

يَوۡمَ يَقُومُ ٱلنَّاسُ لِرَبِّ ٱلۡعَٰلَمِينَ

6. Olunaku abantu lwe baliyimirira mu maaso g'omulezi w’ebitonde. info
التفاسير:

external-link copy
7 : 83

كَلَّآ إِنَّ كِتَٰبَ ٱلۡفُجَّارِ لَفِي سِجِّينٖ

7. Mazima ddala ebiwandiiko by’emirimu gy’aboonoonyi biri mu Sijjiin. info
التفاسير:

external-link copy
8 : 83

وَمَآ أَدۡرَىٰكَ مَا سِجِّينٞ

8. Naye omanyi Sijjiin kye ki? info
التفاسير:

external-link copy
9 : 83

كِتَٰبٞ مَّرۡقُومٞ

9. Ky’ekitabo ekiwandiikibwamu ebibi by’omuntu. info
التفاسير:

external-link copy
10 : 83

وَيۡلٞ يَوۡمَئِذٖ لِّلۡمُكَذِّبِينَ

10. Okuzikirira ku lunaku olwo, kulibeera ku abo abalimbisa. info
التفاسير:

external-link copy
11 : 83

ٱلَّذِينَ يُكَذِّبُونَ بِيَوۡمِ ٱلدِّينِ

11. Abo abalimbisa olunaku lw’okusasulwa (olw’enkomerero). info
التفاسير:

external-link copy
12 : 83

وَمَا يُكَذِّبُ بِهِۦٓ إِلَّا كُلُّ مُعۡتَدٍ أَثِيمٍ

12. Tewali alimbisa lunaku olwo okugyako oyo asukka ensalo z’amateeka ga Katonda era omwonoonyi. info
التفاسير:

external-link copy
13 : 83

إِذَا تُتۡلَىٰ عَلَيۡهِ ءَايَٰتُنَا قَالَ أَسَٰطِيرُ ٱلۡأَوَّلِينَ

13. Bw’aba asomeddwa ebigambo byaffe (Kur'ani) agamba nti ebyo nfumo z’abaasooka. info
التفاسير:

external-link copy
14 : 83

كَلَّاۖ بَلۡۜ رَانَ عَلَىٰ قُلُوبِهِم مَّا كَانُواْ يَكۡسِبُونَ

14. Nedda, ssi bwekiri; wabula bye baali bakola byetuuma ku mitima gyabwe. info
التفاسير:

external-link copy
15 : 83

كَلَّآ إِنَّهُمۡ عَن رَّبِّهِمۡ يَوۡمَئِذٖ لَّمَحۡجُوبُونَ

15. Mazima ddala abatakkiriza ku lunaku olwo baakuziyizibwa okulaba Omulezi waabwe (Katonda). info
التفاسير:

external-link copy
16 : 83

ثُمَّ إِنَّهُمۡ لَصَالُواْ ٱلۡجَحِيمِ

16. Mazima ddala baakuyingira omuliro Jahiimu. info
التفاسير:

external-link copy
17 : 83

ثُمَّ يُقَالُ هَٰذَا ٱلَّذِي كُنتُم بِهِۦ تُكَذِّبُونَ

17. Oluvanyuma bagenda kugambibwa nti ekyo kye mwalimbisanga. info
التفاسير:

external-link copy
18 : 83

كَلَّآ إِنَّ كِتَٰبَ ٱلۡأَبۡرَارِ لَفِي عِلِّيِّينَ

18. Mazima ddala ebiwandiiko by’abakozi b’obulungi biri mu Illiyyiina. info
التفاسير:

external-link copy
19 : 83

وَمَآ أَدۡرَىٰكَ مَا عِلِّيُّونَ

19. Naye omanyi Illiyyiina kye ki? info
التفاسير:

external-link copy
20 : 83

كِتَٰبٞ مَّرۡقُومٞ

20. Ky’ekitabo ekiwandiikibwamu ebirungi by’omuntu. info
التفاسير:

external-link copy
21 : 83

يَشۡهَدُهُ ٱلۡمُقَرَّبُونَ

21. Bakisemberera Ba malayika abali okumpi ne Katonda. info
التفاسير:

external-link copy
22 : 83

إِنَّ ٱلۡأَبۡرَارَ لَفِي نَعِيمٍ

22. Mazima abakozi b’obulungi bagenda kubeera mu byengera. info
التفاسير:

external-link copy
23 : 83

عَلَى ٱلۡأَرَآئِكِ يَنظُرُونَ

23. Nga bali ku bitanda ebiwunde nga batunuulira ebintu ebibeetoolodde. info
التفاسير:

external-link copy
24 : 83

تَعۡرِفُ فِي وُجُوهِهِمۡ نَضۡرَةَ ٱلنَّعِيمِ

24. Essanyu eriribeera ku maaso gaabwe ligenda ku kulaga okwesiima kwe balibaamu. info
التفاسير:

external-link copy
25 : 83

يُسۡقَوۡنَ مِن رَّحِيقٖ مَّخۡتُومٍ

25. Baligabulwanga omubisi (ogw’omu jjana) omusaanikire obulungi. info
التفاسير:

external-link copy
26 : 83

خِتَٰمُهُۥ مِسۡكٞۚ وَفِي ذَٰلِكَ فَلۡيَتَنَافَسِ ٱلۡمُتَنَٰفِسُونَ

26. (Olunaagunywangako) ng'owulira akawoowo ka misk. Ne mu kyo, abaagala okuvuganya mu kukola emirimu emirungi bavuganye. info
التفاسير:

external-link copy
27 : 83

وَمِزَاجُهُۥ مِن تَسۡنِيمٍ

27. Omubisi ogwo gugenda kutabulwa mu Tasnim. info
التفاسير:

external-link copy
28 : 83

عَيۡنٗا يَشۡرَبُ بِهَا ٱلۡمُقَرَّبُونَ

28. Tasnim nsulo erinywebwangako abalibeera okumpi ne Katonda. info
التفاسير:

external-link copy
29 : 83

إِنَّ ٱلَّذِينَ أَجۡرَمُواْ كَانُواْ مِنَ ٱلَّذِينَ ءَامَنُواْ يَضۡحَكُونَ

29. Mazima abantu abo abaali abajeemu baalinga ku nsi nga basekerera abakkiriza. info
التفاسير:

external-link copy
30 : 83

وَإِذَا مَرُّواْ بِهِمۡ يَتَغَامَزُونَ

30. Bwe baabayitangako nga babageyesa amaaso. info
التفاسير:

external-link copy
31 : 83

وَإِذَا ٱنقَلَبُوٓاْ إِلَىٰٓ أَهۡلِهِمُ ٱنقَلَبُواْ فَكِهِينَ

31. Ate nga bwe baddanga mu bantu baabwe nga beewaana. info
التفاسير:

external-link copy
32 : 83

وَإِذَا رَأَوۡهُمۡ قَالُوٓاْ إِنَّ هَٰٓؤُلَآءِ لَضَآلُّونَ

32. Bwe baabalabangako nga bagamba nti mazima abo baabulira ddala. info
التفاسير:

external-link copy
33 : 83

وَمَآ أُرۡسِلُواْ عَلَيۡهِمۡ حَٰفِظِينَ

33. Naye tebatumwanga kubeera nga bebalondoola emirimu gya bali. info
التفاسير:

external-link copy
34 : 83

فَٱلۡيَوۡمَ ٱلَّذِينَ ءَامَنُواْ مِنَ ٱلۡكُفَّارِ يَضۡحَكُونَ

34. Wabula olwaleero (olunaku lw'enkomerero) abo abakkiriza bajja kubeera nga basekerera abatakkiriza. info
التفاسير:

external-link copy
35 : 83

عَلَى ٱلۡأَرَآئِكِ يَنظُرُونَ

35. (Abakkiriza) nga bali ku bitanda ebiwunde nga babakeneka. info
التفاسير:

external-link copy
36 : 83

هَلۡ ثُوِّبَ ٱلۡكُفَّارُ مَا كَانُواْ يَفۡعَلُونَ

36. (Nga bwe bagamba nti) abaffe abatakkiriza basasuddwa bye baalinga bakola. info
التفاسير: