કુરઆન મજીદના શબ્દોનું ભાષાંતર - લુગાન્ડા ભાષામાં અનુવાદ - આફ્રિકન ડેવલપમેન્ટ ફાઉન્ડેશન

Abasa

external-link copy
1 : 80

عَبَسَ وَتَوَلَّىٰٓ

1. (Nabbi Muhammad) azze emitaafu, n’akubayo amabega. info
التفاسير:

external-link copy
2 : 80

أَن جَآءَهُ ٱلۡأَعۡمَىٰ

2. Muzibe bw’amujjidde. info
التفاسير:

external-link copy
3 : 80

وَمَا يُدۡرِيكَ لَعَلَّهُۥ يَزَّكَّىٰٓ

3. Ki ki ekikumanyisa ob'olyawo (muzibe oyo) aneetukuza. info
التفاسير:

external-link copy
4 : 80

أَوۡ يَذَّكَّرُ فَتَنفَعَهُ ٱلذِّكۡرَىٰٓ

4. Oba anaabuulirirwa okubuulira nekumugasa. info
التفاسير:

external-link copy
5 : 80

أَمَّا مَنِ ٱسۡتَغۡنَىٰ

5. Oyo eyeegaggawaza nga yeematira. info
التفاسير:

external-link copy
6 : 80

فَأَنتَ لَهُۥ تَصَدَّىٰ

6. Ate ggwe gwe weemalira? info
التفاسير:

external-link copy
7 : 80

وَمَا عَلَيۡكَ أَلَّا يَزَّكَّىٰ

7. Bw’ateetukuza kiki ekinaakubaako? info
التفاسير:

external-link copy
8 : 80

وَأَمَّا مَن جَآءَكَ يَسۡعَىٰ

8. So ng’oyo akujjidde ng’ayanguwa. info
التفاسير:

external-link copy
9 : 80

وَهُوَ يَخۡشَىٰ

9. Era ng’atya Katonda. info
التفاسير:

external-link copy
10 : 80

فَأَنتَ عَنۡهُ تَلَهَّىٰ

10. Ate ggwe gw’otofaako. info
التفاسير:

external-link copy
11 : 80

كَلَّآ إِنَّهَا تَذۡكِرَةٞ

11. Nedda si bwe kyandibadde, mazima yyo (Kur'ani) kya kwe buulirira. info
التفاسير:

external-link copy
12 : 80

فَمَن شَآءَ ذَكَرَهُۥ

12. Aba ayagadde yeebuulirira nayo. info
التفاسير:

external-link copy
13 : 80

فِي صُحُفٖ مُّكَرَّمَةٖ

13. Eri mu biwandiiko eby’ekitiibwa ennyo. info
التفاسير:

external-link copy
14 : 80

مَّرۡفُوعَةٖ مُّطَهَّرَةِۭ

14. Ebigulumizibwa, ebitukuvu. info
التفاسير:

external-link copy
15 : 80

بِأَيۡدِي سَفَرَةٖ

15. Ebiri mu mikono gya Ba Malayika abawandiisi. info
التفاسير:

external-link copy
16 : 80

كِرَامِۭ بَرَرَةٖ

16. Ab'ebitiibwa, abatukuvu. info
التفاسير:

external-link copy
17 : 80

قُتِلَ ٱلۡإِنسَٰنُ مَآ أَكۡفَرَهُۥ

17. Omuntu yakolimirwa, ki ki ddala ekimuwakanyisa Katonda? info
التفاسير:

external-link copy
18 : 80

مِنۡ أَيِّ شَيۡءٍ خَلَقَهُۥ

18. (Omuntu talaba) kintu ki Katonda mwe yamutonda? info
التفاسير:

external-link copy
19 : 80

مِن نُّطۡفَةٍ خَلَقَهُۥ فَقَدَّرَهُۥ

19. Mu mazzi (e nkwaso) mwe yamutonda n'amugerera (byonna ebiri mutuukako). info
التفاسير:

external-link copy
20 : 80

ثُمَّ ٱلسَّبِيلَ يَسَّرَهُۥ

20. Oluvanyuma n’amwanguyiza ekkubo ly’okuzaalibwa; info
التفاسير:

external-link copy
21 : 80

ثُمَّ أَمَاتَهُۥ فَأَقۡبَرَهُۥ

21. Bw’amala n’amutta era n’aziikibwa mu kabbuli. info
التفاسير:

external-link copy
22 : 80

ثُمَّ إِذَا شَآءَ أَنشَرَهُۥ

22. Oluvanyuma alimuzuukiza bwaliba ayagadde. info
التفاسير:

external-link copy
23 : 80

كَلَّا لَمَّا يَقۡضِ مَآ أَمَرَهُۥ

23. Wabula omuntu tatuukiriza ebyo Katonda by’amulagira okukola. info
التفاسير:

external-link copy
24 : 80

فَلۡيَنظُرِ ٱلۡإِنسَٰنُ إِلَىٰ طَعَامِهِۦٓ

24. Omuntu ateekwa atunuulire by’alya (emitendera gye biyitamu). info
التفاسير:

external-link copy
25 : 80

أَنَّا صَبَبۡنَا ٱلۡمَآءَ صَبّٗا

25. Mazima ffe tufuukirira amazzi olufukirira (olusaanidde.) info
التفاسير:

external-link copy
26 : 80

ثُمَّ شَقَقۡنَا ٱلۡأَرۡضَ شَقّٗا

26. Ne tulyoka twasa ettaka olwasa (olusaanira ebimera). info
التفاسير:

external-link copy
27 : 80

فَأَنۢبَتۡنَا فِيهَا حَبّٗا

27. Olwo nno ne tumeza mu lyo e mpeke. info
التفاسير:

external-link copy
28 : 80

وَعِنَبٗا وَقَضۡبٗا

28. E mizabbibu n’ebimera e bizimba omubiri. info
التفاسير:

external-link copy
29 : 80

وَزَيۡتُونٗا وَنَخۡلٗا

29. N’emizayituni n’emitende. info
التفاسير:

external-link copy
30 : 80

وَحَدَآئِقَ غُلۡبٗا

30. N’ennimiro ezisaakaatiddemu (e miti emiwanvu) info
التفاسير:

external-link copy
31 : 80

وَفَٰكِهَةٗ وَأَبّٗا

31. N’ebibala n’omuddo oguliibwako e bisolo. info
التفاسير:

external-link copy
32 : 80

مَّتَٰعٗا لَّكُمۡ وَلِأَنۡعَٰمِكُمۡ

32. Bibagase n’ebisolo bya mmwe. info
التفاسير:

external-link copy
33 : 80

فَإِذَا جَآءَتِ ٱلصَّآخَّةُ

33. Naye okuboggola bwe kuliba kuzze. info
التفاسير:

external-link copy
34 : 80

يَوۡمَ يَفِرُّ ٱلۡمَرۡءُ مِنۡ أَخِيهِ

34. Olunaku omuntu lwalidduka mugandawe, info
التفاسير:

external-link copy
35 : 80

وَأُمِّهِۦ وَأَبِيهِ

35. Ne maamawe, ne kitaawe. info
التفاسير:

external-link copy
36 : 80

وَصَٰحِبَتِهِۦ وَبَنِيهِ

36. Ne mukyalawe, n’abaanabe. info
التفاسير:

external-link copy
37 : 80

لِكُلِّ ٱمۡرِيٕٖ مِّنۡهُمۡ يَوۡمَئِذٖ شَأۡنٞ يُغۡنِيهِ

37. Buli muntu ku lunaku olwo ajja kuba ku nsonga emukwatako yekka. info
التفاسير:

external-link copy
38 : 80

وُجُوهٞ يَوۡمَئِذٖ مُّسۡفِرَةٞ

38. Ebyenyi ebimu ku lunaku olwo bigenda kuba byakaayakana. info
التفاسير:

external-link copy
39 : 80

ضَاحِكَةٞ مُّسۡتَبۡشِرَةٞ

39. Nga biriko akamwenyumwenyu, nga bisanyufu. info
التفاسير:

external-link copy
40 : 80

وَوُجُوهٞ يَوۡمَئِذٍ عَلَيۡهَا غَبَرَةٞ

40. Ate ebyenyi ebirala bigenda kuba nga bigubye. info
التفاسير:

external-link copy
41 : 80

تَرۡهَقُهَا قَتَرَةٌ

41. Nga ekizikiza kibibisse. info
التفاسير:

external-link copy
42 : 80

أُوْلَٰٓئِكَ هُمُ ٱلۡكَفَرَةُ ٱلۡفَجَرَةُ

42. Abo nno be baawakanya Katonda, aboonoonyi. info
التفاسير: