કુરઆન મજીદના શબ્દોનું ભાષાંતર - લુગાન્ડા ભાષામાં અનુવાદ - આફ્રિકન ડેવલપમેન્ટ ફાઉન્ડેશન

પેજ નંબર:close

external-link copy
17 : 56

يَطُوفُ عَلَيۡهِمۡ وِلۡدَٰنٞ مُّخَلَّدُونَ

17. Abaweereza abalenzi, abolubeerera baliba babayitamu. info
التفاسير:

external-link copy
18 : 56

بِأَكۡوَابٖ وَأَبَارِيقَ وَكَأۡسٖ مِّن مَّعِينٖ

18. Nga balina ebikopo, amabinika ne giraasi ebijjudde omubisi oguva mu nsulo. info
التفاسير:

external-link copy
19 : 56

لَّا يُصَدَّعُونَ عَنۡهَا وَلَا يُنزِفُونَ

19. Tebagenda kulumwa mutwe olwagwo era tebagenda kutamiira. info
التفاسير:

external-link copy
20 : 56

وَفَٰكِهَةٖ مِّمَّا يَتَخَيَّرُونَ

20. N’ebibala (ebye njawulo) mwebyo bye baliba nga basazeewo. info
التفاسير:

external-link copy
21 : 56

وَلَحۡمِ طَيۡرٖ مِّمَّا يَشۡتَهُونَ

21. Ne nnyama y’ebinyonyi eyo gye baliyagala. info
التفاسير:

external-link copy
22 : 56

وَحُورٌ عِينٞ

22. N'abakyala abalungi abamaaso agatemagana. info
التفاسير:

external-link copy
23 : 56

كَأَمۡثَٰلِ ٱللُّؤۡلُوِٕ ٱلۡمَكۡنُونِ

23. Nga balinga Luulu akuumibwa obutiribiri. info
التفاسير:

external-link copy
24 : 56

جَزَآءَۢ بِمَا كَانُواْ يَعۡمَلُونَ

24. (Ebyo byonna) nga mpeera yeebyo bye baali bakola (ebirungi ku nsi). info
التفاسير:

external-link copy
25 : 56

لَا يَسۡمَعُونَ فِيهَا لَغۡوٗا وَلَا تَأۡثِيمًا

25. Tebagenda kuwulira mu yo luyogaano wadde ebigambo ebyesittaza. info
التفاسير:

external-link copy
26 : 56

إِلَّا قِيلٗا سَلَٰمٗا سَلَٰمٗا

26. Okugyako okugamba nti mirembe, mirembe. info
التفاسير:

external-link copy
27 : 56

وَأَصۡحَٰبُ ٱلۡيَمِينِ مَآ أَصۡحَٰبُ ٱلۡيَمِينِ

27. Abantu bo ku mukono ogwa ddyo, abaffe omanyi abantu bo ku mukono ogwa ddyo baliba batya?. info
التفاسير:

external-link copy
28 : 56

فِي سِدۡرٖ مَّخۡضُودٖ

28. Balituula (mu bittuluze) by'emiti gya Sidiri atemeddwako amaggwa. info
التفاسير:

external-link copy
29 : 56

وَطَلۡحٖ مَّنضُودٖ

29. N'ensuku ezirimu amatooke agaliko ebiwagu ebiberekaganye. info
التفاسير:

external-link copy
30 : 56

وَظِلّٖ مَّمۡدُودٖ

30. N'ebisikirize ebigazi. info
التفاسير:

external-link copy
31 : 56

وَمَآءٖ مَّسۡكُوبٖ

31. N'amazzi agakulukuta awatali kusalako. info
التفاسير:

external-link copy
32 : 56

وَفَٰكِهَةٖ كَثِيرَةٖ

32. N'ebibala ebingi. info
التفاسير:

external-link copy
33 : 56

لَّا مَقۡطُوعَةٖ وَلَا مَمۡنُوعَةٖ

33. Ebitaggwawo ate ebitatekebwako kkomo. info
التفاسير:

external-link copy
34 : 56

وَفُرُشٖ مَّرۡفُوعَةٍ

34. N'ebyaliiro ebisuffu ebya waggulu. info
التفاسير:

external-link copy
35 : 56

إِنَّآ أَنشَأۡنَٰهُنَّ إِنشَآءٗ

35. Mazima ffe twatonda abakyala bo mu jjana olutonda. info
التفاسير:

external-link copy
36 : 56

فَجَعَلۡنَٰهُنَّ أَبۡكَارًا

36. Olwo nno twabatonda nga mbeerera. info
التفاسير:

external-link copy
37 : 56

عُرُبًا أَتۡرَابٗا

37. Nga bulijjo baganzi eri ba bbaabwe nga tebakakiddwa. info
التفاسير:

external-link copy
38 : 56

لِّأَصۡحَٰبِ ٱلۡيَمِينِ

38. Nga bo ba bantu abalibeera ku mukono ogwa ddyo. info
التفاسير:

external-link copy
39 : 56

ثُلَّةٞ مِّنَ ٱلۡأَوَّلِينَ

39. Bangi mu bibiina ebyasooka. info
التفاسير:

external-link copy
40 : 56

وَثُلَّةٞ مِّنَ ٱلۡأٓخِرِينَ

40. Era bangi mu kibiina kya bantu ab'enkomerero (ab’ekibiina kya Nabbi Muhammad). info
التفاسير:

external-link copy
41 : 56

وَأَصۡحَٰبُ ٱلشِّمَالِ مَآ أَصۡحَٰبُ ٱلشِّمَالِ

41. Ate abantu bo ku mukono ogwa kkono, abaffe omanyi abantu bo ku mukono ogwa kkono baliba batya?. info
التفاسير:

external-link copy
42 : 56

فِي سَمُومٖ وَحَمِيمٖ

42. Balibeera mu kibuyaga ayokya n’amazzi ageeseze. info
التفاسير:

external-link copy
43 : 56

وَظِلّٖ مِّن يَحۡمُومٖ

43. Nga nebisikirize mwe balyewogoma, biriba bya mu mukka omuddugavu ogwokya. info
التفاسير:

external-link copy
44 : 56

لَّا بَارِدٖ وَلَا كَرِيمٍ

44. Biriba tebinnyogoga era nga tebisanyusa. info
التفاسير:

external-link copy
45 : 56

إِنَّهُمۡ كَانُواْ قَبۡلَ ذَٰلِكَ مُتۡرَفِينَ

45. Anti mazima bo oluberyeberye lwa kino baali baamalibwawo ebyo kwe jalabya. info
التفاسير:

external-link copy
46 : 56

وَكَانُواْ يُصِرُّونَ عَلَى ٱلۡحِنثِ ٱلۡعَظِيمِ

46. Era baalemeranga ku kibi ekinene (bwe baalayiranga nti tewali kuzuukira). info
التفاسير:

external-link copy
47 : 56

وَكَانُواْ يَقُولُونَ أَئِذَا مِتۡنَا وَكُنَّا تُرَابٗا وَعِظَٰمًا أَءِنَّا لَمَبۡعُوثُونَ

47. Era baagamba nga nti bwetufa netufuuka ettaka, era netusigala ngumba gumba abaffe tulizuukizibwa!. info
التفاسير:

external-link copy
48 : 56

أَوَءَابَآؤُنَا ٱلۡأَوَّلُونَ

48. Ne bakadde baffe abasooka (nabo bwe batyo)!. info
التفاسير:

external-link copy
49 : 56

قُلۡ إِنَّ ٱلۡأَوَّلِينَ وَٱلۡأٓخِرِينَ

49. Bagambe ggwe (Nabbi Muhammad) nti mazima abasooka n'aboluvanyuma. info
التفاسير:

external-link copy
50 : 56

لَمَجۡمُوعُونَ إِلَىٰ مِيقَٰتِ يَوۡمٖ مَّعۡلُومٖ

50. Ddala ba kukunganyizibwa ku lunaku olwasalibwawo olumanyiddwa. info
التفاسير: