કુરઆન મજીદના શબ્દોનું ભાષાંતર - લુગાન્ડા ભાષામાં અનુવાદ - આફ્રિકન ડેવલપમેન્ટ ફાઉન્ડેશન

પેજ નંબર:close

external-link copy
68 : 39

وَنُفِخَ فِي ٱلصُّورِ فَصَعِقَ مَن فِي ٱلسَّمَٰوَٰتِ وَمَن فِي ٱلۡأَرۡضِ إِلَّا مَن شَآءَ ٱللَّهُۖ ثُمَّ نُفِخَ فِيهِ أُخۡرَىٰ فَإِذَا هُمۡ قِيَامٞ يَنظُرُونَ

68. Engombe erifuuyibwa, ebiri mu ggulu omusanvu n'ebyo ebiri mu nsi nebizikirira, okugyako ekyo Katonda kyaliba ayagadde, oluvanyuma erifuuyibwa omulundi omulala oligenda okulaba nga beesiimbye (bwa ntoogo) batunula. info
التفاسير:

external-link copy
69 : 39

وَأَشۡرَقَتِ ٱلۡأَرۡضُ بِنُورِ رَبِّهَا وَوُضِعَ ٱلۡكِتَٰبُ وَجِاْيٓءَ بِٱلنَّبِيِّـۧنَ وَٱلشُّهَدَآءِ وَقُضِيَ بَيۡنَهُم بِٱلۡحَقِّ وَهُمۡ لَا يُظۡلَمُونَ

69. Ensi egenda kwakaayakana olw'ekitangaala kya Mukama omulabirizi waayo, ebitabo (by’emirimu gya baddu) bissibwewo, ba Nabbi n’abajulizi (ba Malayika abawandiika emirimu gya baddu) baleetebwe era balamulwe mu mazima era bo tebagenda kulyazaamaanyizibwa. info
التفاسير:

external-link copy
70 : 39

وَوُفِّيَتۡ كُلُّ نَفۡسٖ مَّا عَمِلَتۡ وَهُوَ أَعۡلَمُ بِمَا يَفۡعَلُونَ

70. Buli mwoyo gulisasulwa mu bujjuvu ebyo bye gwakola, anti bulijjo Katonda amanyidde ddala ebyo bye bakola. info
التفاسير:

external-link copy
71 : 39

وَسِيقَ ٱلَّذِينَ كَفَرُوٓاْ إِلَىٰ جَهَنَّمَ زُمَرًاۖ حَتَّىٰٓ إِذَا جَآءُوهَا فُتِحَتۡ أَبۡوَٰبُهَا وَقَالَ لَهُمۡ خَزَنَتُهَآ أَلَمۡ يَأۡتِكُمۡ رُسُلٞ مِّنكُمۡ يَتۡلُونَ عَلَيۡكُمۡ ءَايَٰتِ رَبِّكُمۡ وَيُنذِرُونَكُمۡ لِقَآءَ يَوۡمِكُمۡ هَٰذَاۚ قَالُواْ بَلَىٰ وَلَٰكِنۡ حَقَّتۡ كَلِمَةُ ٱلۡعَذَابِ عَلَى ٱلۡكَٰفِرِينَ

71. Abo abaakaafuwala balikunguzzibwa okutwalibwa mu muliro Jahannama nga bali mu bibinja, olwo nno bwe baligutuukako emiryango gyagwo nga giggulwawo, era abakuumi baagwo babagambe nti, abaffe tebaabajjira ababaka nga bava mu mmwe!, nga babasomera ebigambo bya Mukama omulabirizi wa mmwe era nebabatiisa okusisinkana olunaku lwa mmwe luno? baligamba nti weewaawo (batujjira naye twabalimbisa) naye ekigambo ky’ebibonerezo kimaze okukakata ku bakaafiiri. info
التفاسير:

external-link copy
72 : 39

قِيلَ ٱدۡخُلُوٓاْ أَبۡوَٰبَ جَهَنَّمَ خَٰلِدِينَ فِيهَاۖ فَبِئۡسَ مَثۡوَى ٱلۡمُتَكَبِّرِينَ

72. Baligambibwa nti muyingire emiryango gy’omuliro Jahannama nga muli bakutuula mu gwo bugenderevu, nagwo kifo kibi eri abeekuza. info
التفاسير:

external-link copy
73 : 39

وَسِيقَ ٱلَّذِينَ ٱتَّقَوۡاْ رَبَّهُمۡ إِلَى ٱلۡجَنَّةِ زُمَرًاۖ حَتَّىٰٓ إِذَا جَآءُوهَا وَفُتِحَتۡ أَبۡوَٰبُهَا وَقَالَ لَهُمۡ خَزَنَتُهَا سَلَٰمٌ عَلَيۡكُمۡ طِبۡتُمۡ فَٱدۡخُلُوهَا خَٰلِدِينَ

73. Abo abatya Mukama omulabirizi waabwe balitwalibwa eri e jjana nga bali mu bibinja, olwo nno bwe baligituukako n’emiryango gyayo negiggulwa, n’abakuumi baayo nebabagamba nti emirembe gibe ku mmwe mwakola bulungi (nga muli ku nsi) kale muyingire, mugenda kutuulamu, bugenderevu. info
التفاسير:

external-link copy
74 : 39

وَقَالُواْ ٱلۡحَمۡدُ لِلَّهِ ٱلَّذِي صَدَقَنَا وَعۡدَهُۥ وَأَوۡرَثَنَا ٱلۡأَرۡضَ نَتَبَوَّأُ مِنَ ٱلۡجَنَّةِ حَيۡثُ نَشَآءُۖ فَنِعۡمَ أَجۡرُ ٱلۡعَٰمِلِينَ

74. Baligamba nti ebitendo byonna bya Katonda oyo atutuukiririzza endagaano ye, naatusikiza ettaka (lyo mu jjana) nga tweyagalira mu jjana wonna wetwagala nga kyo kyengera kya mpeera ya bakozi. info
التفاسير: