আল-কোৰআনুল কাৰীমৰ অৰ্থানুবাদ - উগাণ্ডিয়ান অনুবাদ- আফ্ৰিকান বিকাশ ফাউণ্ডেচন

Al–Inshikak

external-link copy
1 : 84

إِذَا ٱلسَّمَآءُ ٱنشَقَّتۡ

1. Eggulu bwe liryeyasaamu. info
التفاسير:

external-link copy
2 : 84

وَأَذِنَتۡ لِرَبِّهَا وَحُقَّتۡ

2. Ne ligondera ekiragiro kya Mukama waalyo, era nga bwe kyandibadde. info
التفاسير:

external-link copy
3 : 84

وَإِذَا ٱلۡأَرۡضُ مُدَّتۡ

3. Ensi bw'eriseeteezebwa. info
التفاسير:

external-link copy
4 : 84

وَأَلۡقَتۡ مَا فِيهَا وَتَخَلَّتۡ

4. N'ewandula ebigirimu n'esigala nga njereere. info
التفاسير:

external-link copy
5 : 84

وَأَذِنَتۡ لِرَبِّهَا وَحُقَّتۡ

5. N'egondera ekiragiro kya mukama waayo era nga bwe kyandibadde. info
التفاسير:

external-link copy
6 : 84

يَٰٓأَيُّهَا ٱلۡإِنسَٰنُ إِنَّكَ كَادِحٌ إِلَىٰ رَبِّكَ كَدۡحٗا فَمُلَٰقِيهِ

6. Owange ggwe omuntu! Otakabana olutakabana (okukola e mirimu) ng'odda eri Katondawo. Era oli wakumusisinkana. info
التفاسير:

external-link copy
7 : 84

فَأَمَّا مَنۡ أُوتِيَ كِتَٰبَهُۥ بِيَمِينِهِۦ

7. Kale nno omuntu aliweebwa ekitabokye mu mukonogwe ogwa ddyo. info
التفاسير:

external-link copy
8 : 84

فَسَوۡفَ يُحَاسَبُ حِسَابٗا يَسِيرٗا

8. Agenda kubalwa olubala olwangu. info
التفاسير:

external-link copy
9 : 84

وَيَنقَلِبُ إِلَىٰٓ أَهۡلِهِۦ مَسۡرُورٗا

9. Era adde eri banne nga musanyufu. info
التفاسير:

external-link copy
10 : 84

وَأَمَّا مَنۡ أُوتِيَ كِتَٰبَهُۥ وَرَآءَ ظَهۡرِهِۦ

10. Naye oyo aliweebwa ekitabokye e mabega w'omugongogwe. info
التفاسير:

external-link copy
11 : 84

فَسَوۡفَ يَدۡعُواْ ثُبُورٗا

11. Agenda kukuba e biwoobe. info
التفاسير:

external-link copy
12 : 84

وَيَصۡلَىٰ سَعِيرًا

12. Yeesogge omuliro Sa-iira. info
التفاسير:

external-link copy
13 : 84

إِنَّهُۥ كَانَ فِيٓ أَهۡلِهِۦ مَسۡرُورًا

13. Kubanga yabeeranga (ku nsi) mu bantube nga musanyufu (mu kujeemera amateeka ga Mukama Katonda). info
التفاسير:

external-link copy
14 : 84

إِنَّهُۥ ظَنَّ أَن لَّن يَحُورَ

14. Bambi! yalowooza nti tagenda kuzuukira. info
التفاسير:

external-link copy
15 : 84

بَلَىٰٓۚ إِنَّ رَبَّهُۥ كَانَ بِهِۦ بَصِيرٗا

15. So nno, mazima Katondawe yalinga amulaba. info
التفاسير:

external-link copy
16 : 84

فَلَآ أُقۡسِمُ بِٱلشَّفَقِ

16. Ndayira ekire ekimyufu (ekibaawo ng'enjuba yakagwa). info
التفاسير:

external-link copy
17 : 84

وَٱلَّيۡلِ وَمَا وَسَقَ

17. Ne ndayira n'ekiro n'ebyo bye kikungaanya. info
التفاسير:

external-link copy
18 : 84

وَٱلۡقَمَرِ إِذَا ٱتَّسَقَ

18. Era ndayira omwezi bwe guba gujjudde. info
التفاسير:

external-link copy
19 : 84

لَتَرۡكَبُنَّ طَبَقًا عَن طَبَقٖ

19. Mujja kukyusibwakyusibwa (mu mbeera za mmwe nga muva mu mbeera okudda ku ndala). info
التفاسير:

external-link copy
20 : 84

فَمَا لَهُمۡ لَا يُؤۡمِنُونَ

20. Naye lwaki tebakkiriza! info
التفاسير:

external-link copy
21 : 84

وَإِذَا قُرِئَ عَلَيۡهِمُ ٱلۡقُرۡءَانُ لَا يَسۡجُدُونَۤ۩

21. Ne Kur'ani bwe basomerwa tebavunnama. info
التفاسير:

external-link copy
22 : 84

بَلِ ٱلَّذِينَ كَفَرُواْ يُكَذِّبُونَ

22. Wabula e nsonga ebagaana okuvunnama lwakuba nti abakafuuru balimbisa (Kur'ani). info
التفاسير:

external-link copy
23 : 84

وَٱللَّهُ أَعۡلَمُ بِمَا يُوعُونَ

23. So nga Katonda amannyidde ddala bye bakweka (mu mitima gyabwe). info
التفاسير:

external-link copy
24 : 84

فَبَشِّرۡهُم بِعَذَابٍ أَلِيمٍ

24. Bawe amawulire nti bagenda kubeera mu bibonerezo ebiruma. info
التفاسير:

external-link copy
25 : 84

إِلَّا ٱلَّذِينَ ءَامَنُواْ وَعَمِلُواْ ٱلصَّٰلِحَٰتِ لَهُمۡ أَجۡرٌ غَيۡرُ مَمۡنُونِۭ

25. Okugyako abo abakkiriza ne bakola e mirimu e mirongoofu. Abo be bagenda okufuna e mpeera etakutukawo. info
التفاسير: