আল-কোৰআনুল কাৰীমৰ অৰ্থানুবাদ - উগাণ্ডিয়ান অনুবাদ- আফ্ৰিকান বিকাশ ফাউণ্ডেচন

পৃষ্ঠা নং:close

external-link copy
4 : 59

ذَٰلِكَ بِأَنَّهُمۡ شَآقُّواْ ٱللَّهَ وَرَسُولَهُۥۖ وَمَن يُشَآقِّ ٱللَّهَ فَإِنَّ ٱللَّهَ شَدِيدُ ٱلۡعِقَابِ

4. Ekyo nno lwansonga yaakuba nti baawakanya Katonda n'omubakawe. Ate nga oyo yenna awakanya Katonda, amanye nti mazima Katonda muyitirivu waakubonereza. info
التفاسير:

external-link copy
5 : 59

مَا قَطَعۡتُم مِّن لِّينَةٍ أَوۡ تَرَكۡتُمُوهَا قَآئِمَةً عَلَىٰٓ أُصُولِهَا فَبِإِذۡنِ ٱللَّهِ وَلِيُخۡزِيَ ٱلۡفَٰسِقِينَ

5. Emiti gye ntende gyonna gyemwatema oba jemwaleka nga giyimiridde nga bwegyali, ebyo byonna byakolebwa lwa kiragiro kya Katonda, era alyoke aswaze abo abonoonyi. info
التفاسير:

external-link copy
6 : 59

وَمَآ أَفَآءَ ٱللَّهُ عَلَىٰ رَسُولِهِۦ مِنۡهُمۡ فَمَآ أَوۡجَفۡتُمۡ عَلَيۡهِ مِنۡ خَيۡلٖ وَلَا رِكَابٖ وَلَٰكِنَّ ٱللَّهَ يُسَلِّطُ رُسُلَهُۥ عَلَىٰ مَن يَشَآءُۚ وَٱللَّهُ عَلَىٰ كُلِّ شَيۡءٖ قَدِيرٞ

6. Eyo emmaali Katonda gyeyasobozesa omubakawe okusuuza abalabe. (ba Banu Nadhiri) temwebagala nfaransi wadde engamiya okugenda gyebali. Wabula Katonda asobozesa ababakabe okuwangula oyo yenna gwaba ayagadde okuwangulwa, mazima Katonda asobola buli kintu kyonna. info
التفاسير:

external-link copy
7 : 59

مَّآ أَفَآءَ ٱللَّهُ عَلَىٰ رَسُولِهِۦ مِنۡ أَهۡلِ ٱلۡقُرَىٰ فَلِلَّهِ وَلِلرَّسُولِ وَلِذِي ٱلۡقُرۡبَىٰ وَٱلۡيَتَٰمَىٰ وَٱلۡمَسَٰكِينِ وَٱبۡنِ ٱلسَّبِيلِ كَيۡ لَا يَكُونَ دُولَةَۢ بَيۡنَ ٱلۡأَغۡنِيَآءِ مِنكُمۡۚ وَمَآ ءَاتَىٰكُمُ ٱلرَّسُولُ فَخُذُوهُ وَمَا نَهَىٰكُمۡ عَنۡهُ فَٱنتَهُواْۚ وَٱتَّقُواْ ٱللَّهَۖ إِنَّ ٱللَّهَ شَدِيدُ ٱلۡعِقَابِ

7. Emmaali eyo yonna Katonda gyeyasobozesa omubakawe okusuuza okuva mu byalo (bya ba Banu Nadhiri ng'olutalo luggweredde mu kutegeeragana) eba y'a Katonda, n'omubakawe, n'aboluganda lwa Nabbi olwokumpi, ne ba mulekwa, ne ba masikiini, n'abatambuze naabo abafunye ebizibu mu ngendo zaabwe. Emmaali eyo ereme kuba nga abeegasa nayo bagagga bokka mu mmwe. Ebyo byonna omubaka byaba abaleetedde mubitwale. Ate ebyo byonna byaba abaziyizza mubireke mutye Katonda anti Katonda muyitirivu w'akubonereza. info
التفاسير:

external-link copy
8 : 59

لِلۡفُقَرَآءِ ٱلۡمُهَٰجِرِينَ ٱلَّذِينَ أُخۡرِجُواْ مِن دِيَٰرِهِمۡ وَأَمۡوَٰلِهِمۡ يَبۡتَغُونَ فَضۡلٗا مِّنَ ٱللَّهِ وَرِضۡوَٰنٗا وَيَنصُرُونَ ٱللَّهَ وَرَسُولَهُۥٓۚ أُوْلَٰٓئِكَ هُمُ ٱلصَّٰدِقُونَ

8. Na bwe kityo abaavu abaasenguka okuva e (Makkah) ne bagobwa mu mayumba gaabwe ne balesebwa e mmaali yaabwe nga banoonya obulungi n'okusiima kwa Katonda era nga baali bataasa ddiini y'a Katonda n'omubakawe (balinako omugabo). Abo nno b'ebakkiriza abamazima. info
التفاسير:

external-link copy
9 : 59

وَٱلَّذِينَ تَبَوَّءُو ٱلدَّارَ وَٱلۡإِيمَٰنَ مِن قَبۡلِهِمۡ يُحِبُّونَ مَنۡ هَاجَرَ إِلَيۡهِمۡ وَلَا يَجِدُونَ فِي صُدُورِهِمۡ حَاجَةٗ مِّمَّآ أُوتُواْ وَيُؤۡثِرُونَ عَلَىٰٓ أَنفُسِهِمۡ وَلَوۡ كَانَ بِهِمۡ خَصَاصَةٞۚ وَمَن يُوقَ شُحَّ نَفۡسِهِۦ فَأُوْلَٰٓئِكَ هُمُ ٱلۡمُفۡلِحُونَ

9. Abatuuze b'e Madinah abaasooka okukkiriza obusiramu (ba Answar) baagala abo abaasengukira gyebali (ba Muhajiruuna), era tebalina nsaalwa yonna kwebyo ebyaweebwa bannabwe (ba Muhajiruna) era nga beeresa newakubadde nga balina obwetaavu bo bennyini. Omuntu awona omulugube, abo nno b'ebokwesiimira ddala. info
التفاسير: