আল-কোৰআনুল কাৰীমৰ অৰ্থানুবাদ - উগাণ্ডিয়ান অনুবাদ- আফ্ৰিকান বিকাশ ফাউণ্ডেচন

পৃষ্ঠা নং:close

external-link copy
58 : 21

فَجَعَلَهُمۡ جُذَٰذًا إِلَّا كَبِيرٗا لَّهُمۡ لَعَلَّهُمۡ إِلَيۡهِ يَرۡجِعُونَ

58 . (Yagabetenta) naagafuula bubajjo okugyako (essanamu) erigasinga obunene, olwo nno badde gye liri (lye baba babuuza). info
التفاسير:

external-link copy
59 : 21

قَالُواْ مَن فَعَلَ هَٰذَا بِـَٔالِهَتِنَآ إِنَّهُۥ لَمِنَ ٱلظَّٰلِمِينَ

59 . (Bwe badda) nebagamba nti ani akoze kino ku ba katonda baffe, mazima yye ali mu beeyisa obubi. info
التفاسير:

external-link copy
60 : 21

قَالُواْ سَمِعۡنَا فَتٗى يَذۡكُرُهُمۡ يُقَالُ لَهُۥٓ إِبۡرَٰهِيمُ

60 . Nebagamba nti twawulidde omuvubuka ayitibwa Ibrahim nga agoogerako. info
التفاسير:

external-link copy
61 : 21

قَالُواْ فَأۡتُواْ بِهِۦ عَلَىٰٓ أَعۡيُنِ ٱلنَّاسِ لَعَلَّهُمۡ يَشۡهَدُونَ

61 . Nebagamba nti kale mumuleete mu maaso g'abantu bamuweeko obujulizi. info
التفاسير:

external-link copy
62 : 21

قَالُوٓاْ ءَأَنتَ فَعَلۡتَ هَٰذَا بِـَٔالِهَتِنَا يَٰٓإِبۡرَٰهِيمُ

62 . (Bwe baamutuusa) nebamugamba nti: Gwe wakoze kino ku ba katonda baffe owange Ibrahim!. info
التفاسير:

external-link copy
63 : 21

قَالَ بَلۡ فَعَلَهُۥ كَبِيرُهُمۡ هَٰذَا فَسۡـَٔلُوهُمۡ إِن كَانُواْ يَنطِقُونَ

63 . Naabagamba nti: nedda omukulu waabwe ono ye yakikoze, kale mubabuuze bwe baba nga baatula. info
التفاسير:

external-link copy
64 : 21

فَرَجَعُوٓاْ إِلَىٰٓ أَنفُسِهِمۡ فَقَالُوٓاْ إِنَّكُمۡ أَنتُمُ ٱلظَّٰلِمُونَ

64 . Nebeetunulako nebagamba nti mazima mmwe, mmwe abeeyisa obubi. info
التفاسير:

external-link copy
65 : 21

ثُمَّ نُكِسُواْ عَلَىٰ رُءُوسِهِمۡ لَقَدۡ عَلِمۡتَ مَا هَٰٓؤُلَآءِ يَنطِقُونَ

65 . Ate oluvanyuma (lw'ekyo) beekyusa, (mu kifo ky'okwenenya baalemera ku bukaafiiri era nebagamba nti) mazima okimanyi nti amasanamu ago tegoogera. info
التفاسير:

external-link copy
66 : 21

قَالَ أَفَتَعۡبُدُونَ مِن دُونِ ٱللَّهِ مَا لَا يَنفَعُكُمۡ شَيۡـٔٗا وَلَا يَضُرُّكُمۡ

66 . (Ibrahim) naagamba nti ate muva ku Katonda nemusinza ebitabagasa kantu konna wadde okubatuusaako akabi. info
التفاسير:

external-link copy
67 : 21

أُفّٖ لَّكُمۡ وَلِمَا تَعۡبُدُونَ مِن دُونِ ٱللَّهِۚ أَفَلَا تَعۡقِلُونَ

67 . Kivve ku mmwe, lwaki musinza ebintu ebirala nemuleka Katonda abaffe temutegeera!. info
التفاسير:

external-link copy
68 : 21

قَالُواْ حَرِّقُوهُ وَٱنصُرُوٓاْ ءَالِهَتَكُمۡ إِن كُنتُمۡ فَٰعِلِينَ

68 . Nebagamba nti (oba bwatyo bwagamba) mumwokye mutaase ba katonda ba mmwe bwe muba nga mulina kye munaakola. info
التفاسير:

external-link copy
69 : 21

قُلۡنَا يَٰنَارُ كُونِي بَرۡدٗا وَسَلَٰمًا عَلَىٰٓ إِبۡرَٰهِيمَ

69 . Netugamba nti owange muliro beera bunnyogovu era mirembe ku Ibrahim. info
التفاسير:

external-link copy
70 : 21

وَأَرَادُواْ بِهِۦ كَيۡدٗا فَجَعَلۡنَٰهُمُ ٱلۡأَخۡسَرِينَ

70 . Baayagala okumukolera olukwe naye twabafuula abataalufunamu. info
التفاسير:

external-link copy
71 : 21

وَنَجَّيۡنَٰهُ وَلُوطًا إِلَى ٱلۡأَرۡضِ ٱلَّتِي بَٰرَكۡنَا فِيهَا لِلۡعَٰلَمِينَ

71 . Netumuwonya netuwonya ne Luutu netubatwala mu nsi gye twawa omukisa ku lw'ebitonde. info
التفاسير:

external-link copy
72 : 21

وَوَهَبۡنَا لَهُۥٓ إِسۡحَٰقَ وَيَعۡقُوبَ نَافِلَةٗۖ وَكُلّٗا جَعَلۡنَا صَٰلِحِينَ

72 . Twamugabira Ishaka ne Yakubu nga nnyongeza, bonna twabafuula balongoofu. info
التفاسير: