വിശുദ്ധ ഖുർആൻ പരിഭാഷ - ഉഗാണ്ടൻ ഭാഷാ വിവർത്തനം - ആഫ്രിക്കൻ ഡെവലപ്മെൻ്റ് ഫൗണ്ടേഷൻ

പേജ് നമ്പർ:close

external-link copy
48 : 43

وَمَا نُرِيهِم مِّنۡ ءَايَةٍ إِلَّا هِيَ أَكۡبَرُ مِنۡ أُخۡتِهَاۖ وَأَخَذۡنَٰهُم بِٱلۡعَذَابِ لَعَلَّهُمۡ يَرۡجِعُونَ

48. Tetwabalaga kabonero konna okugyako nga kko kaba kanene okusinga kannaako (wabula era tebakkiriza) netubatusaako ebibonerezo oba olyawo ne bekyusa (okuva ku kye babaddeko). info
التفاسير:

external-link copy
49 : 43

وَقَالُواْ يَٰٓأَيُّهَ ٱلسَّاحِرُ ٱدۡعُ لَنَا رَبَّكَ بِمَا عَهِدَ عِندَكَ إِنَّنَا لَمُهۡتَدُونَ

49. (Bwe balaba ebibonerezo) olwo nno ne bagamba nti owange ggwe omulogo tusabire Mukama omulabirizi wo ng’okozesa ebyo bye yakuwa (ebisabisibwa) mazima ffe ddala tujja kulungama. info
التفاسير:

external-link copy
50 : 43

فَلَمَّا كَشَفۡنَا عَنۡهُمُ ٱلۡعَذَابَ إِذَا هُمۡ يَنكُثُونَ

50. Bwe twabagyako ebibonerezo amangu ago bo ne bamenya endagaano. info
التفاسير:

external-link copy
51 : 43

وَنَادَىٰ فِرۡعَوۡنُ فِي قَوۡمِهِۦ قَالَ يَٰقَوۡمِ أَلَيۡسَ لِي مُلۡكُ مِصۡرَ وَهَٰذِهِ ٱلۡأَنۡهَٰرُ تَجۡرِي مِن تَحۡتِيٓۚ أَفَلَا تُبۡصِرُونَ

51. Era Firawo nalangirira mu bantu be naagamba nti abange bantu bange obufuzi bwa Misiri si bwange, nga nagino emigga gikulukutira wansi wange abaffe temulaba!. info
التفاسير:

external-link copy
52 : 43

أَمۡ أَنَا۠ خَيۡرٞ مِّنۡ هَٰذَا ٱلَّذِي هُوَ مَهِينٞ وَلَا يَكَادُ يُبِينُ

52. Wabula nze nsinga ono (Musa) oyo yye anyomwa, era nga kumpi tasobola na kunnyonnyola (nsonga) yonna. info
التفاسير:

external-link copy
53 : 43

فَلَوۡلَآ أُلۡقِيَ عَلَيۡهِ أَسۡوِرَةٞ مِّن ذَهَبٍ أَوۡ جَآءَ مَعَهُ ٱلۡمَلَٰٓئِكَةُ مُقۡتَرِنِينَ

53. Singa yanaanikibwa ebikomo ebya zaabu oba ba Malayika nebajja naye nga ba muwerekera (olwo nno) twanditegedde nti mubaka wa Katonda. info
التفاسير:

external-link copy
54 : 43

فَٱسۡتَخَفَّ قَوۡمَهُۥ فَأَطَاعُوهُۚ إِنَّهُمۡ كَانُواْ قَوۡمٗا فَٰسِقِينَ

54. (Firawo) bwatyo bwe yazannyira ku bwongo bwa bantu be, olwo nno ne bamugondera era mazima bo nebaba abantu abonoonyi. info
التفاسير:

external-link copy
55 : 43

فَلَمَّآ ءَاسَفُونَا ٱنتَقَمۡنَا مِنۡهُمۡ فَأَغۡرَقۡنَٰهُمۡ أَجۡمَعِينَ

55. Bwe bamala okutunyiiza twababonereza ne tubazikiriza n’amazzi bonna. info
التفاسير:

external-link copy
56 : 43

فَجَعَلۡنَٰهُمۡ سَلَفٗا وَمَثَلٗا لِّلۡأٓخِرِينَ

56. Ne tubafuula abedda abogerwako era ne tubafuula eky'okulabirako eri ab'oluvanyuma. info
التفاسير:

external-link copy
57 : 43

۞ وَلَمَّا ضُرِبَ ٱبۡنُ مَرۡيَمَ مَثَلًا إِذَا قَوۡمُكَ مِنۡهُ يَصِدُّونَ

57. Mutabani wa Mariam (Issa) bwe yakubirwako ekifaananyi, ogenda okulaba nga abantu bo kibawogganya (olwessanyu). info
التفاسير:

external-link copy
58 : 43

وَقَالُوٓاْ ءَأَٰلِهَتُنَا خَيۡرٌ أَمۡ هُوَۚ مَا ضَرَبُوهُ لَكَ إِلَّا جَدَلَۢاۚ بَلۡ هُمۡ قَوۡمٌ خَصِمُونَ

58. Nebagamba nti abaffe ba katonda baffe bebasinga oba yye, tebakukubira kifaananyi ekyo okugyako lwa kuwalaaza mpaka, nedda (si ekyo kyokka kye bawakanya) bulijjo bo bantu bawakanyi. info
التفاسير:

external-link copy
59 : 43

إِنۡ هُوَ إِلَّا عَبۡدٌ أَنۡعَمۡنَا عَلَيۡهِ وَجَعَلۡنَٰهُ مَثَلٗا لِّبَنِيٓ إِسۡرَٰٓءِيلَ

59. (Isa) tali yye okugyako okuba nti muddu waffe nga abalala, twamugabira ekyengera (kyo bwa Nabbi) era netumufuula ekyokulabirako eri abaaana ba Israil. info
التفاسير:

external-link copy
60 : 43

وَلَوۡ نَشَآءُ لَجَعَلۡنَا مِنكُم مَّلَٰٓئِكَةٗ فِي ٱلۡأَرۡضِ يَخۡلُفُونَ

60. Singa twayagala abamu mu mmwe twandibafudde ba Malayika nga basikiragana mu nsi. info
التفاسير: