വിശുദ്ധ ഖുർആൻ പരിഭാഷ - ഉഗാണ്ടൻ ഭാഷാ വിവർത്തനം - ആഫ്രിക്കൻ ഡെവലപ്മെൻ്റ് ഫൗണ്ടേഷൻ

പേജ് നമ്പർ:close

external-link copy
16 : 15

وَلَقَدۡ جَعَلۡنَا فِي ٱلسَّمَآءِ بُرُوجٗا وَزَيَّنَّٰهَا لِلنَّٰظِرِينَ

16. Mazima twassa ku ggulu ebifo by'emmunyenye netulinyiriza eri abalabi. info
التفاسير:

external-link copy
17 : 15

وَحَفِظۡنَٰهَا مِن كُلِّ شَيۡطَٰنٖ رَّجِيمٍ

17. Era netulikuuma ku buli Sitane eyagobwa mu kusaasira kwa Katonda. info
التفاسير:

external-link copy
18 : 15

إِلَّا مَنِ ٱسۡتَرَقَ ٱلسَّمۡعَ فَأَتۡبَعَهُۥ شِهَابٞ مُّبِينٞ

18. Wabula oyo Sitane aba awulirizza mu bubba olwo nno ekitawuliro ekyeyolefu nekimufubutula emisinde. info
التفاسير:

external-link copy
19 : 15

وَٱلۡأَرۡضَ مَدَدۡنَٰهَا وَأَلۡقَيۡنَا فِيهَا رَوَٰسِيَ وَأَنۢبَتۡنَا فِيهَا مِن كُلِّ شَيۡءٖ مَّوۡزُونٖ

19. N’ensi twagigaziya, netugisimbamu enkondo (ensozi), netumeza mu yo buli kintu nga kya kigero. info
التفاسير:

external-link copy
20 : 15

وَجَعَلۡنَا لَكُمۡ فِيهَا مَعَٰيِشَ وَمَن لَّسۡتُمۡ لَهُۥ بِرَٰزِقِينَ

20. Netubateera (mmwe) mu yo ebiyimirizaawo obulamu bwa mmwe, n'ebiyimirizaawo obulamu bw'ebyo bye mutaliisa. info
التفاسير:

external-link copy
21 : 15

وَإِن مِّن شَيۡءٍ إِلَّا عِندَنَا خَزَآئِنُهُۥ وَمَا نُنَزِّلُهُۥٓ إِلَّا بِقَدَرٖ مَّعۡلُومٖ

21. Tewali kintu kyonna okugyako nga ffe tulina amawanika g'akyo ate tetubissa okugyako nga kigero ekisaliddwawo. info
التفاسير:

external-link copy
22 : 15

وَأَرۡسَلۡنَا ٱلرِّيَٰحَ لَوَٰقِحَ فَأَنزَلۡنَا مِنَ ٱلسَّمَآءِ مَآءٗ فَأَسۡقَيۡنَٰكُمُوهُ وَمَآ أَنتُمۡ لَهُۥ بِخَٰزِنِينَ

22. Era tusindika empewo eyamba ebire okubaamu amazzi, olwo nno netussa enkuba okuva waggulu, netubanywekereza nayo mmwe, so nga si mmwe muba mugaterese. info
التفاسير:

external-link copy
23 : 15

وَإِنَّا لَنَحۡنُ نُحۡيِۦ وَنُمِيتُ وَنَحۡنُ ٱلۡوَٰرِثُونَ

23. Era mazima ffe tuwa obulamu, era netutta era ffe tugenda okusigalawo. info
التفاسير:

external-link copy
24 : 15

وَلَقَدۡ عَلِمۡنَا ٱلۡمُسۡتَقۡدِمِينَ مِنكُمۡ وَلَقَدۡ عَلِمۡنَا ٱلۡمُسۡتَـٔۡخِرِينَ

24. Era mazima ddala twamanya abalisooka mu mmwe (okufa) era mazima twamanya abalisembayo. info
التفاسير:

external-link copy
25 : 15

وَإِنَّ رَبَّكَ هُوَ يَحۡشُرُهُمۡۚ إِنَّهُۥ حَكِيمٌ عَلِيمٞ

25. Era mazima Mukama omulabiriziwo yaali bakunganya (ku lunaku lw'enkomerero) anti mazima yye mugoba nsonga, muyitirivu wa kumanya. info
التفاسير:

external-link copy
26 : 15

وَلَقَدۡ خَلَقۡنَا ٱلۡإِنسَٰنَ مِن صَلۡصَٰلٖ مِّنۡ حَمَإٖ مَّسۡنُونٖ

26. Mazima twakola omuntu (Adam) mu bbumba ettabule nga liddugavu. info
التفاسير:

external-link copy
27 : 15

وَٱلۡجَآنَّ خَلَقۡنَٰهُ مِن قَبۡلُ مِن نَّارِ ٱلسَّمُومِ

27. N'amajjini twagatonda oluberyeberye mu muliro omuyitirivu ogwokya ennyo. info
التفاسير:

external-link copy
28 : 15

وَإِذۡ قَالَ رَبُّكَ لِلۡمَلَٰٓئِكَةِ إِنِّي خَٰلِقُۢ بَشَرٗا مِّن صَلۡصَٰلٖ مِّنۡ حَمَإٖ مَّسۡنُونٖ

28. Jjukira ggwe (Nabbi Muhammad) Mukama omulabiriziwo bwe yagamba ba Malayika nti: mazima nja kutonda omuntu nga muggya mu bbumba ekkaze. info
التفاسير:

external-link copy
29 : 15

فَإِذَا سَوَّيۡتُهُۥ وَنَفَخۡتُ فِيهِ مِن رُّوحِي فَقَعُواْ لَهُۥ سَٰجِدِينَ

29. Olwo nno bwe nnamala okumwenkanyankanya, nenfuuwa mu ye omwoyo oguva gyendi kale nno mugwe wansi nga mumuvunnamira. info
التفاسير:

external-link copy
30 : 15

فَسَجَدَ ٱلۡمَلَٰٓئِكَةُ كُلُّهُمۡ أَجۡمَعُونَ

30. Olwo ba Malayika bonna nebavunnama. info
التفاسير:

external-link copy
31 : 15

إِلَّآ إِبۡلِيسَ أَبَىٰٓ أَن يَكُونَ مَعَ ٱلسَّٰجِدِينَ

31. Okugyako Ibuliisu yagaana okubeera mu bavunnama. info
التفاسير: