ការបកប្រែអត្ថន័យគួរអាន - ការបកប្រែជាភាសាលូហ្គង់ដា - វិទ្យាស្ថានទ្វីបអាហ្វ្រិកសម្រាប់ការអភិវឌ្ឍ

លេខ​ទំព័រ:close

external-link copy
45 : 21

قُلۡ إِنَّمَآ أُنذِرُكُم بِٱلۡوَحۡيِۚ وَلَا يَسۡمَعُ ٱلصُّمُّ ٱلدُّعَآءَ إِذَا مَا يُنذَرُونَ

45 . Bagambe nti mazima mbatiisa nga nkozesa obubaka, wabula ba kiggala tebawulira kukoowoola bwe baba balabuddwa. info
التفاسير:

external-link copy
46 : 21

وَلَئِن مَّسَّتۡهُمۡ نَفۡحَةٞ مِّنۡ عَذَابِ رَبِّكَ لَيَقُولُنَّ يَٰوَيۡلَنَآ إِنَّا كُنَّا ظَٰلِمِينَ

46 . So nga bwe balituukwako akatundu ku bibonerezo bya Mukama omulabiriziwo bagenda kugambira ddala nti zitusanze mazima ffe tubadde tweyisa bubi. info
التفاسير:

external-link copy
47 : 21

وَنَضَعُ ٱلۡمَوَٰزِينَ ٱلۡقِسۡطَ لِيَوۡمِ ٱلۡقِيَٰمَةِ فَلَا تُظۡلَمُ نَفۡسٞ شَيۡـٔٗاۖ وَإِن كَانَ مِثۡقَالَ حَبَّةٖ مِّنۡ خَرۡدَلٍ أَتَيۡنَا بِهَاۗ وَكَفَىٰ بِنَا حَٰسِبِينَ

47 . Tugenda kussaawo minzane entuufu ezirikozesebwa ku lunaku lw'enkomerero, olwo nno tewali muntu aliryazaamaanyizibwa kintu kyonna, ne bwe kiriba kyenkana obuzito bwe mpeke ya khardali tugenda kukireeta. Kimala bumazi okuba nti ffe tuliba ababazi. info
التفاسير:

external-link copy
48 : 21

وَلَقَدۡ ءَاتَيۡنَا مُوسَىٰ وَهَٰرُونَ ٱلۡفُرۡقَانَ وَضِيَآءٗ وَذِكۡرٗا لِّلۡمُتَّقِينَ

48 . Twawa Musa ne Haruna amateeka (Taurat) agaawula wakati wa mazima n'obulimba era nga kitangaaala era nga kya kubuulirira eri abatya Katonda. info
التفاسير:

external-link copy
49 : 21

ٱلَّذِينَ يَخۡشَوۡنَ رَبَّهُم بِٱلۡغَيۡبِ وَهُم مِّنَ ٱلسَّاعَةِ مُشۡفِقُونَ

49 . Abo abatya Mukama omulabirizi waabwe awamu n'okuba nga tebamulaba era nga nabo beeraliikirira ekiseera ky'enkomerero. info
التفاسير:

external-link copy
50 : 21

وَهَٰذَا ذِكۡرٞ مُّبَارَكٌ أَنزَلۡنَٰهُۚ أَفَأَنتُمۡ لَهُۥ مُنكِرُونَ

50 . Eno (k’urane) kubuulirira okw'omukisa kwe twassa, abaffe mugiwakanya?. info
التفاسير:

external-link copy
51 : 21

۞ وَلَقَدۡ ءَاتَيۡنَآ إِبۡرَٰهِيمَ رُشۡدَهُۥ مِن قَبۡلُ وَكُنَّا بِهِۦ عَٰلِمِينَ

51 . Mazima twawa Ibrahim obulungamubwe okuva oluberyeberye era twali tumanyi ebimukwatako. info
التفاسير:

external-link copy
52 : 21

إِذۡ قَالَ لِأَبِيهِ وَقَوۡمِهِۦ مَا هَٰذِهِ ٱلتَّمَاثِيلُ ٱلَّتِيٓ أَنتُمۡ لَهَا عَٰكِفُونَ

52 . Jjukira bwe yagamba kitaawe n'abantu be nti: bifaananyi ki bino, ebyo mmwe bye mulemeddeko!. info
التفاسير:

external-link copy
53 : 21

قَالُواْ وَجَدۡنَآ ءَابَآءَنَا لَهَا عَٰبِدِينَ

53 . Nebagamba nti twasanga bakadde baffe nga byebasinza. info
التفاسير:

external-link copy
54 : 21

قَالَ لَقَدۡ كُنتُمۡ أَنتُمۡ وَءَابَآؤُكُمۡ فِي ضَلَٰلٖ مُّبِينٖ

54 . (Ibrahim) naagamba nti mazima mmwe ne bakadde ba mmwe mwali mu bubuze obw'olwatu. info
التفاسير:

external-link copy
55 : 21

قَالُوٓاْ أَجِئۡتَنَا بِٱلۡحَقِّ أَمۡ أَنتَ مِنَ ٱللَّٰعِبِينَ

55 . Nebagamba nti otuleetedde mazima oba oli mu ba kazannyirizi. info
التفاسير:

external-link copy
56 : 21

قَالَ بَل رَّبُّكُمۡ رَبُّ ٱلسَّمَٰوَٰتِ وَٱلۡأَرۡضِ ٱلَّذِي فَطَرَهُنَّ وَأَنَا۠ عَلَىٰ ذَٰلِكُم مِّنَ ٱلشَّٰهِدِينَ

56 . Naagamba nti wabula Mukama omulabirizi wa mmwe, ye Mukama omulabirizi w'eggulu (omusanvu) n'ensi oyo eyabitonda nange ku ekyo ndi omu ku bajulizi. info
التفاسير:

external-link copy
57 : 21

وَتَٱللَّهِ لَأَكِيدَنَّ أَصۡنَٰمَكُم بَعۡدَ أَن تُوَلُّواْ مُدۡبِرِينَ

57 . Era ndayira Katonda amasanamu ga mmwe nja kugasalira amagezi singa munaaba mugaleseewo ne mubaako wemulaga. info
التفاسير: